1 Awo malayika eyali ayogera nange n’akomawo, n’anzuukusa ng’omuntu bw’azuukusibwa mu tulo. 2 N’ambuuza nti, “Kiki ky’olaba?”
4 Ne mbuuza malayika eyali ayogera nange nti, “Bino biki mukama wange?”
5 Malayika eyali ayogera nange n’addamu n’aŋŋamba nti, “Tobimanyi?”
6 Awo n’addamu n’aŋŋamba nti, “Kino kye kigambo kya
7 “Ggwe olusozi olunene weyita ki? Mu maaso ga Zerubbaberi olibeera lusenyi, era alireeta ejjinja erya waggulu mu mizira n’okwogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, ‘Liweebwe omukisa, liweebwe omukisa!’ ”
8 Awo ekigambo kya
10 “Ani anyooma olunaku olw’ebintu ebitono? Abantu balijaguza, bwe baliraba ejjinja erigera mu mukono gwa Zerubbaberi. Gano omusanvu ge maaso ga Katonda agayitaayita mu nsi yonna.”
11 Ne ndyoka mubuuza nti, “Emizeeyituuni gino ebiri ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono ogw’ekikondo ky’ettabaaza, gitegeeza ki?”
12 Ne nnyongera okumubuuza nti, “Gano amatabi abiri ag’emizeeyituuni agaliraanye emidumu gya zaabu ge gayitamu amafuta aga zaabu?”
13 N’anziramu nti, “Tobimanyi?”
14 Awo n’addamu nti, “Abo be babiri abaafukibwako amafuta abaweereza Mukama ow’ensi yonna.”
<- Zekkaliya 3Zekkaliya 5 ->