13
1 “Ku lunaku olwo ensulo z’amazzi ziriggulirwa ennyumba ya Dawudi n’abatuuze b’omu Yerusaalemi okubatukuza okuva mu kibi n’obutali bulongoofu.
2 “Ku lunaku olwo, ndiggya amannya ga bakatonda abalala okuva mu nsi, galeme kuddayo kujjukirwa, era nzigye bannabbi n’omwoyo ogutali mulongoofu mu nsi,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 3 Era singa omuntu yenna awa obunnabbi, kitaawe ne nnyina abamuzaala bennyini balimugamba nti, “Oteekwa kufa kubanga oyogedde eby’obulimba mu linnya lya Mukama.” Bw’aliwa obunnabbi, bakadde be bennyini bamufumitanga.
4 “Ku lunaku olwo buli nnabbi alikwatibwa ensonyi olw’okwolesebwa kwe okw’obulimba; era tebalyambala kyambalo kyabwe eky’ebyoya okulimba abantu. 5 Aligamba nti, ‘Siri nnabbi nze, ndi mulimi bulimi; era mu nnimiro mwe nkoledde emirimu gyange obulamu bwange bwonna.’ 6 Era singa omuntu bamubuuza nti, ‘Ate bino ebiwundu ebiri ku mubiri gwo bya ki?’ Aliddamu nti, ‘Ebiwundu n’abifunira mu nnyumba ya mikwano gyange.’ ”
Isirayiri Ebonerezebwa
7 “Zuukuka, ggwe ekitala olwanyise omusumba wange,
olwane n’omusajja annyimirira ku lusegere,”
bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
“Kuba omusumba
endiga zisaasaane
nange ndiyimusa omukono gwange ku baana abato.
8 Mu nsi yonna,” bw’ayogera Mukama,
“bibiri bya kusatu bye birikubwa bisaanewo,
naye kimu kya kusatu kye kirisigalamu.
9 Ekitundu kino eky’ekimu ekyokusatu ndikireeta mu muliro,
ne mbalongoosa ng’effeeza bw’erongoosebwa
mbagezese nga zaabu bw’egezesebwa.
Balikoowoola erinnya lyange
nange ndibaanukula.
Ndigamba nti, ‘Bantu bange,’
era nabo baliddamu nti, ‘
Mukama ye Katonda waffe.’ ”
<- Zekkaliya 12Zekkaliya 14 ->