2
Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Efeso
1
2 Nti mmanyi ebikolwa byo n’okugumiikiriza kwo, era nga tosobola kugumiikiriza bakozi ba bibi era ng’ogezesezza abo abeeyita abatume n’obavumbula nga balimba. 3 Era ogumiikirizza okubonaabona n’oguma olw’erinnya lyange, n’otokoowa.
4 Naye nnina ensonga gye nkuvunaana: tokyanjagala nga bwe wanjagalanga edda. 5 Noolwekyo jjukira we waseeseetuka. Weenenye, onjagale nga bwe wanjagalanga edda. Naye bw’otookole bw’otyo ndijja gy’oli ne nzigyawo ekikondo ky’ettaala yo mu kifo kyakyo, okuggyako nga weenenya. 6 Wabula ekirungi ekikuliko kye kino: okyawa ebikolwa by’Abanikolayiti [a]nga nange bwe mbikyawa.
7 Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa okulya ku muti ogw’obulamu oguli mu nnimiro ya Katonda.
Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Sumuna
8
11 Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula talifa mulundi gwakubiri.
Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Perugamo
12
14 Naye nkulinako ensonga ntono: eyo olinayo ab’enjigiriza eya Balamu eyayigiriza Balaki okutega abaana ba Isirayiri omutego n’abaliisa ennyama ey’omuzizo eyassaddaakirwa eri bakatonda abalala, era n’okwenda. 15 Ate era olinayo n’abakkiririza mu njigiriza y’Abanikolayiti. 16 Noolwekyo weenenye, bw’otookikole ndijja mangu ne nnwanyisa abantu abo n’ekitala eky’omu kamwa kange.
17 Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa ku maanu eyakwekebwa. Era ndimuwa ejjinja eryeru eriwandiikiddwako erinnya eriggya eritamanyiddwa muntu mulala yenna wabula oyo aliweereddwa.”
Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Suwatira
18
20 Kyokka nkulinako ensonga eno. Ogumiikiriza omukazi Yezeberi eyeeyita nnabbi omukazi akyamya abaweereza bange ng’abayigiriza obwenzi n’okulya emmere eweereddwayo eri bakatonda abalala. 21 Namuwa ekiseera yeenenye, kyokka tayagala kwenenya bwenzi bwe. 22 Laba, ndimulwaza obulwadde obulimusuula ku ndiri, era n’abo baayenda nabo mbatuuse ku bulumi obw’amaanyi, okuggyako nga beenenyezza ebikolwa byabwe. 23 Era nditta abaana be. Olwo Ekkanisa zonna ziryoke zitegeere nti nkebera emitima n’ebirowoozo era ndibasasula ng’ebikolwa byabwe bwe biri.
24 Kale mmwe abalala abali mu Suwatira abatagoberera kuyigiriza kuno abatamanyi bintu bya Setaani eby’obuziba ng’enjogera bw’egamba, sigenda kubassaako mugugu mulala. 25 Wabula munyweze nnyo kye mulina okutuusa lwe ndijja.
26 Oyo aliwangula era n’oyo alisigala ng’akola emirimu gyange okutuusa ku nkomerero, ndimuwa obuyinza okufuga amawanga. 27 ‘Alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma, n’abayasaayasa ng’ayasaayasa ebibya eby’ebbumba.’ 28 Era ndimuwa emmunyeenye ey’enkya nga nange bwe nagiweebwa Kitange. 29 Alina amatu awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo.
<- Okubikkulirwa 1Okubikkulirwa 3 ->
-
a Abanikolayiti kyali kibinja ky’abantu mu kkanisa ekyali kisizza ekimu n’abakaafiri abaasinzanga ebifaananyi. Baayigirizanga nti Omwoyo yabakkiriza okusinza ebifaananyi n’okukola ebikolwa eby’obugwagwa