Okubikkulirwa
1 Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo, Katonda kwe yamuwa okulaga abaddu be ebyo ebiteekwa okubaawo amangu. Kristo yakimanyisa ng’atuma malayika we eri omuweereza we Yokaana 2 eyategeeza ekigambo kya Katonda n’obujulirwa bwa Yesu Kristo ku byonna bye yalaba. 3 Alina omukisa oyo asoma n’abo abawulira ebigambo by’obunnabbi buno, ne beekuuma ebiwandiikiddwa, kubanga ekiseera kiri kiweddeyo.
4 Nze Yokaana mpandiikira Ekkanisa omusanvu eziri mu Asiya.
8
9 Nze muganda wammwe Yokaana, abonaabonera awamu nammwe mu bwakabaka ne mu kugumiikiriza ebiri mu Yesu, nnali ku kizinga ekiyitibwa Patumo, olw’ekigambo kya Katonda era n’okujulira ebya Yesu. 10 Nnali mu mwoyo ku lunaku lwa Mukama waffe,[c] ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka emabega wange, eryavuga ng’ery’akagombe, 11 nga ligamba nti,
12 Ne nkyuka okulaba eyali ayogera nange, ne ndaba ebikondo by’ettaala ebya zaabu musanvu. 13 Era wakati mu byo ne ndabamu omuntu “eyali ng’Omwana w’Omuntu” eyali ayambadde ekyambalo ekiwanvu ekikoma ku bigere, nga yeesibye mu kifuba olukoba olwa zaabu. 14 Omutwe gwe n’enviiri ze byali byeru ng’ebyoya by’endiga ebyeru, era nga bifaanana ng’omuzira, n’amaaso ge nga gali ng’ennimi z’omuliro. 15 Ebigere bye byali ng’ekikomo ekizigule ekyakaayakana mu muliro n’eddoboozi lye nga liyira ng’amazzi amangi. 16 Yali akutte emmunyeenye musanvu mu mukono gwe ogwa ddyo era ng’alina ekitala ekyogi eky’obwogi obubiri[d] mu kamwa ke; n’ekyenyi kye nga kiri ng’enjuba eyakaayakana mu maanyi gaayo.
17 Bwe namulaba, ne ngwa wansi ku bigere bye ne mba ng’afudde, kyokka ye n’anteekako omukono gwe ogwa ddyo n’aŋŋamba nti,
19
-
a Amakanisa omusanvu gaali geeyawudde kilomita amakumi ataano nga gali mu ngeri ya nnekulungo, okuva ku Efeso okutuuka ku Lawodikiya, ekiri mu buvanjuba bwa Efeso. Ekitabo kyonna ekya kubikkulirwa kyaweerezebwa mu buli kkanisa
b Alufa ne Omega ze nnukuta ez’Oluyonaani. Alufa y’esooka, Omega n’esembayo. Katonda ye ntandikwa era ye nkomerero
c Olunaku lwa Mukama waffe: kye kikozesebwa okutegeeza olunaku olusooka olwa wiiki, era lujjukirwa nga lwe lunaku Yesu lwe yazuukirirako mu bafu. Lwe lunaku Abakristaayo kwe baakuŋŋaaniranga ne basolooza ebirabo
d Ekitala ekyogi eky’obwogi obubiri ekyogerwako wano, kyali kiwanvu nga kifaanana ekitala kya Sirasiya