Zabbuli 143
Zabbuli Ya Dawudi.
1 Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama ,
wulira okwegayirira kwange!
Ggwe omwesigwa
era omutuukirivu jjangu ombeere.
2 Tonsalira musango,
kubanga mu maaso go tewali n’omu atuukiridde.
3 Omulabe wange angoba n’ankwata n’ansuula wansi;
anteeka mu kizikiza ne nfaanana ng’abaafa edda.
4 Noolwekyo omwoyo gwange guweddemu endasi,
n’omutima gwange gwennyise.
5 Nzijukira ennaku ez’edda,
ne nfumiitiriza ku ebyo bye wakola byonna,
ne ndowooza ku mirimu gy’emikono gyo.
6 Ngolola emikono gyange gy’oli,
ne nkuyaayaanira ng’ettaka ekkalu bwe liyaayaanira enkuba.
7 Yanguwa okunziramu, Ayi Mukama ,
kubanga omwoyo gwange guggwaamu amaanyi.
Tonkisa maaso go,
nneme okufaanana ng’abafu.
8 Obudde nga bukedde, nsaba ondage okwagala kwo okutaggwaawo;
kubanga ggwe gwe neesiga.
Njigiriza ekkubo lye nsaana okutambuliramu,
kubanga omwoyo gwange gwonna guli gy’oli.
9 Mponya, Ayi Mukama , abalabe bange,
kubanga ggwe kiddukiro kyange.
10 Njigiriza okukola by’oyagala,
kubanga ggwe Katonda wange!
Omwoyo wo omulungi ankulembere,
antambulize mu kkubo eddungi ery’omuseetwe.
11 Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama , onkuume,
mu butuukirivu bwo onzigye mu kabi.
12 Omalewo abalabe bange olw’okwagala kwo,
ozikirize n’abanjigganya bonna,