Zabbuli 115
1 Si ffe, Ayi Mukama , si ffe.
Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwanga ekitiibwa,
olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo.
2 Lwaki amawanga gabuuza nti,
“Katonda waabwe ali ludda wa?”
3 Katonda waffe ali mu ggulu;
akola buli ky’ayagala.
4 Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu,
ebikolebwa n’emikono gy’abantu.
5 Birina emimwa, naye tebyogera;
birina amaaso, naye tebiraba.
6 Birina amatu, naye tebiwulira;
birina ennyindo, naye tebiwunyiriza.
7 Birina engalo, naye tebikwata;
birina ebigere, naye tebitambula;
ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi n’akamu,
8 abakozi ababikola,
n’abo bonna ababyesiga balibifaanana.
9 Mmwe ennyumba ya Isirayiri mwesigenga Mukama ,
ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
10 Mmwe ennyumba ya Alooni mwesigenga Mukama ,
ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
11 Mmwe abamutya, mwesigenga Mukama ,
ye mubeezi wammwe, era ye ngabo yammwe.
12 Mukama anaatujjukiranga, era anaatuwanga omukisa.
Ab’ennyumba ya Isirayiri anaabawanga omukisa;
ab’omu nnyumba ya Alooni anaabawanga omukisa;
13 n’abo abamutya, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa,
14 Mukama abaaze mweyongere nnyo obungi,
mmwe n’abaana bammwe.
15 Mukama , eyakola eggulu n’ensi,
abawe omukisa.
16 Eggulu ery’oku ntikko lya Mukama ,
naye ensi yagiwa abantu bonna.
17 Abafu tebatendereza Mukama ,
wadde abo abaserengeta emagombe.
18 Naye ffe tunaatenderezanga Mukama ,
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.