1 Batabani ba Lewubeeni ne batabani ba Gaadi baalina amagana g’ente n’ebisibo by’endiga; ebisolo byabwe nga bingi nnyo. Baatunuulira ensi ya Yazeri n’ensi ya Gireyaadi, ne balaba ng’ekitundu ekyo kituufu okulundiramu ebisolo byabwe. 2 Ne bajja awali Musa ne Eriyazaali kabona, n’eri abakulembeze b’ekibiina ne babagamba nti, 3 “Ebitundu bino: Atalisi, ne Diboni, ne Yazeri, ne Nimula, ne Kesuboni, ne Ereyale, ne Sebamu, ne Nebo ne Beoni, 4 bye bitundu by’ensi
6 Musa n’agamba batabani ba Gaadi ne batabani ba Lewubeeni nti, “Mwagala baganda bammwe bagende batabaale, nga mmwe mwetuulidde wano? 7 Lwaki abaana ba Isirayiri mwagala okubamalamu amaanyi mu mitima gyabwe mubalemese okuyingira mu nsi
14 “Kale nno mmwe muli bazzukulu baabwe, batabani b’abakozi b’ebibi, nga mwongera okunakuwaza
16 Ne bamusemberera ne bamuddamu nti, “Twagala tuzimbe wano ebiraalo eby’ebisibo by’ebisolo byaffe, tuzimbe n’ebigo eby’abaana baffe abato. 17 Naye ffe tubagalire ebyokulwanyisa, tukulembere abaana ba Isirayiri tubatuuse mu bifo byabwe. Olwo abaana baffe abato balisigala mu bibuga bye tuzimbyeko ebigo ebinywevu, kubanga mu nsi muno mulimu abantu baamu. 18 Tetugenda kudda mu maka gaffe okutuusa ng’abaana ba Isirayiri buli omu amaze okuweebwa obutaka bwe. 19 Ffe tetugenda kugabana nabo ku butaka obwo obuli emitala wa Yoludaani n’okweyongerayo; kubanga obutaka bwaffe tuliba tubufunye ku ludda luno olwa Buvanjuba bwa Yoludaani.”
20 Awo Musa n’abagamba nti, “Bwe munaakola bwe mutyo, ne mukwata ebyokulwanyisa mu maaso ga
23 “Naye bwe mutalikola bwe mutyo, muliba musobezza nnyo awali
25 Abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni ne bagamba Musa nti, “Ffe abaweereza bo tujja kukola nga ggwe mukama waffe bw’otulagidde. 26 Abaana baffe abato ne bakazi baffe, n’ebisibo byaffe eby’endiga n’ebiraalo byaffe eby’ente byonna bijja kusigala wano mu bibuga bya Gireyaadi. 27 Naye abaweereza bo, buli musajja eyeewaddeyo okutabaala ajja kusomoka alwanire mu maaso ga
28 Awo Musa n’abawaako ebiragiro eri Eriyazaali kabona, n’eri Yoswa mutabani wa Nuuni, n’eri abakulembeze b’empya ez’omu bika by’abaana ba Isirayiri. 29 Musa n’agamba nti, “Batabani ba Gaadi ne batabani ba Lewubeeni, buli musajja eyeetegese okutabaala mu maaso ga
31 Batabani ba Gaadi ne batabani ba Lewubeeni ne baddamu nti, “Ffe abaweereza bo tujja kukola nga
33 Awo Musa n’abagabira, abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni, n’ekitundu ky’ekika kya Manase mutabani wa Yusufu, obwakabaka bwa Sikoni kabaka w’Abamoli, n’obwakabaka bwa Ogi kabaka w’e Basani, n’abawa ensi n’ebibuga byamu, n’amatwale gaayo n’ebibuga byamu ebigyetoolodde.
34 Batabani ba Gaadi ne bazimba ebibuga bino: Diboni, ne Atalosi, ne Aloweri, 35 ne Aterosi Sofani, ne Yazeri, ne Yogubeka; 36 ne Besu Nimira, ne Besu Kalaani, nga bye bibuga ebiriko ebigo ebinywevu, ne bakola n’ebisibo by’ebisolo byabwe. 37 Batabani ba Lewubeeni ne bazimba ebibuga bino: Kesuboni, ne Ereyale, ne Kiriyasayimu, 38 ne Nebo, ne Baalu Myoni (amannya gaabyo gaakyusibwa), ne Sibima. Ebibuga bye baddaabiriza baabituuma amannya malala.
39 Abaana ba Makiri, mutabani wa Manase, ne bagenda e Gireyaadi, ensi eyo ne bagiwamba, ne bagobamu Abamoli abaagibeerangamu. 40 Bw’atyo Musa n’awa Gireyaadi, Makiri mutabani wa Manase, n’atuula omwo. 41 Yayiri mutabani wa Manase n’agenda ne yeetwalira obubuga obutonotono, n’abutuuma Kavosu Yayiri. 42 Ne Noba naye n’awamba Kenasi n’obwalo obukyetoolodde, n’akituuma Noba erinnya lye.
<- Okubala 31Okubala 33 ->-
a Okusinziira ku Olubereberye 15:19 ne 36:11 Abakenizi baali Bakanani, era nga bazzukulu ba Esawu.