1 Awo oluvannyuma lwa kawumpuli, Mukama Katonda n’agamba Musa ne Eriyazaali, mutabani wa Alooni, kabona, nti, 2 “Bala omuwendo gw’abantu bonna abali mu kibiina ky’abaana ba Isirayiri, ng’obabala mu bika byabwe ne mu mayumba ga bakadde baabwe. Bala abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo abakyasobola okutabaala mu ggye lya Isirayiri.” 3 Bwe batyo, nga bali mu nsenyi za Mowaabu, ku ludda lw’omugga Yoludaani okwolekera Yeriko, Musa ne Eriyazaali kabona, ne boogera ne bagamba abantu nti, 4 “Mubale abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.”
Bano be baana ba Isirayiri abaava mu nsi y’e Misiri:
5 Ab’omu kika kya Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye, be bano:
abaava mu Kanoki, lwe lunyiriri lw’Abakanoki;
abaava mu Palu, lwe lunyiriri lw’Abapalu;
6 abaava mu Kezulooni, lwe lunyiriri lw’Abakezulooni;
abaava mu Kalumi, lwe lunyiriri lw’Abakalumi.
7 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Lewubeeni. Abo abaabalibwa baawera emitwalo ena mu enkumi ssatu mu lusanvu mu amakumi asatu (43,730).
8 Mutabani wa Palu yali Eriyaabu, 9 ne batabani ba Eriyaabu baali, Nemweri ne Dasani ne Abiraamu. Dasani ne Abiraamu be bo abaali abakulembeze mu kibiina abaajeemera Musa ne Alooni era baali mu kabondo k’abagoberezi ba Koola abaajeemera Mukama Katonda. 10 Ensi yayasamya akamwa kaayo n’ebamira, ne bafiira wamu ne Koola; n’abagoberezi ba Koola ebikumi bibiri mu ataano nabo baazikirizibwa mu muliro ogwabasaanyaawo. Ne babeera kabonero ka kulabirako akanaalabulanga abantu. 11 Kyokka olunyiriri lwa Koola terwazikiririra ddala lwonna.
50 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Nafutaali. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (45,400).
51 Okugatta awamu omuwendo gwonna ogw’abaana ba Isirayiri abasajja abaabalibwa baawera emitwalo nkaaga mu lukumi mu lusanvu mu amakumi asatu (601,730).
Okugabanya Ensi
52 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 53 “Ensi ejja kubagabanyizibwamu okubeera obutaka bwabwe ng’obungi bw’amannya gaabwe bwe buli. 54 Ekibiina ekinene kinaafuna wanene, n’ekibiina ekitono kinaafuna watono. Buli kibiina kinaafuna obunene nga obungi bw’amannya agali ku lukalala bwe genkana obungi. 55 Weegendereze okukakasa ng’ensi egabanyizibbwa mu bwenkanya. Ekika, ekitundu kye kinaafuna kineesigama ku bungi bw’amannya ga bajjajja b’ekika ekyo. 56 Ebitundu ebinene binaagabanyizibwa ku kalulu, era n’ebitundu ebitono nabyo bwe bityo.”
Okubala Abaleevi
57 Bano be Baleevi abaabalibwa ng’enyiriri zaabwe bwe zaali:
abaava mu Gerusoni, lwe lunyiriri lw’Abagerusoni;
abaava mu Kokasi, lwe lunyiriri lw’Abakokasi;
abaava mu Merali, lwe lunyiriri lw’Abamerali.
58 Ne zino nazo nnyiriri za Baleevi:
olunyiriri lw’Ababalibuni,
olunyiriri lw’Abakebbulooni,
olunyiriri lw’Abamakuli,
olunyiriri lw’Abamusi,
n’olunyiriri lw’Abakoola.
Kokasi yazaala Amulaamu. 59 Erinnya lya muka Amulaamu ye yali Yokebedi muwala wa Leevi, Leevi gwe yazaalira mu Misiri. N’azaalira Amulaamu bano: Alooni, ne Musa ne mwannyinaabwe Miryamu. 60 Alooni ye yali kitaawe wa bano: Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali. 61 Kyokka Nadabu ne Abiku ne bafa bwe baakuma omuliro ogutali mutukuvu mu maaso ga Mukama.
62 Abasajja bonna okuva ku mwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo, abaabalibwa, baali emitwalo ebiri mu enkumi ssatu (23,000). Tebaabalirwa wamu na baana ba Isirayiri nga babalibwa, kubanga Abaleevi bo tebaaweebwa mugabo gwa butaka ng’abaana ba Isirayiri bagabana.
63 Abo be baabalibwa Musa ne Eriyazaali kabona lwe baabala abaana ba Isirayiri mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko. 64 Naye mu bano abaabalibwa temwalimu musajja n’omu ku abo abaali babaliddwa Musa ne Alooni kabona bwe baabala abaana ba Isirayiri mu Ddungu lya Sinaayi. 65 Kubanga Mukama Katonda yali agambye abaana ba Isirayiri abo nti awatali kubuusabuusa bonna bagenda kufiira mu ddungu. Era tewali n’omu eyasigalawo nga mulamu okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune, ne Yoswa mutabani wa Nuuni.