1
8 “Abaana ba Alooni, bakabona, be banaafuuwanga amakondeere. Lino linaabanga tteeka ery’enkalakkalira mu mmwe ne mu mirembe egigenda okujja. 9 Bwe munaagendanga okutabaala omulabe abajoogerereza mu nsi yammwe, mufuuwanga amakondeere ag’omwanguka. Bwe mutyo munajjukirwanga
11 Awo olwatuuka ku lunaku olw’amakumi abiri mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokubiri, ekire ne kisitulibwa okuva waggulu wa Weema ey’Endagaano. 12 Abaana ba Isirayiri ne basitula ne batambula okuva mu Ddungu lya Sinaayi, oluvannyuma ekire ne kiyimirira mu Ddungu lya Palani. 13 Ogwo gwe gwali omulundi omubereberye okusitula okutambula nga bagendera ku kiragiro kya
14 Olusiisira lw’abaana ba Yuda lwe lwasooka okusitula okutambula, nga bakulemberwa ebendera yaabwe; Nakusoni mutabani wa Amminadaabu nga ye muduumizi waabwe. 15 Nesaneri mutabani wa Zuwaali ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Isakaali, 16 ne Eriyaabu mutabani wa Keroni n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Zebbulooni. 17 Eweema ya
18 Ebibinja by’omu lusiisira lwa Lewubeeni bye byaddako okusitula okutambula awamu n’ebendera yaabyo, nga biduumirwa Erizuuli mutabani wa Sedewuli. 19 Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Simyoni, 20 ne Eriyasaafu mutabani wa Deweri n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Gaadi. 21 Abakokasi ne basitula okutambula nga beetisse ebintu ebitukuvu. Eweema ya
22 Ebibinja by’omu lusiisira lwa Efulayimu bye byaddirira okusitula okutambula awamu n’ebendera yaabyo; Erisaama mutabani wa Ammikudi nga ye muduumizi waabyo. 23 Gamalyeri mutabani wa Pidazuuli ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Manase; 24 ne Abidaani mutabani wa Gidyoni n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Benyamini.
25 Ku nkomerero ya byonna, ebibinja by’omu lusiisira lwa Ddaani, nga bye bikuuma emabega, ne bisitula okutambula n’ebendera yaabyo nga bikoobedde ensiisira zonna; Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi nga ye muduumizi waabyo. 26 Pagiyeeri mutabani wa Okulaani ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Aseri; 27 ne Akira mutabani wa Enani n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Nafutaali. 28 Eyo ye yali entegeka ey’abaana ba Isirayiri ng’ebibinja byabwe bwe byali nga basitula okutambula.
29 Awo Musa n’agamba mukoddomi we Kobabu mutabani wa Leweri Omumidiyaani nti, “Tusitula okutambula okugenda mu kifo
30 Naye n’addamu nti, “Nedda, sijja kugenda nammwe, nzirayo mu nsi ye waffe era mu bantu bange.”
31 Naye Musa n’amugamba nti, “Nkwegayiridde totuleka. Ggwe omanyi obulungi eddungu gye tusaanye okukuba olusiisira lwaffe, ggwe ojja okubeera amaaso gaffe. 32 Singa ojja ne tugenda ffenna, tunaagabaniranga wamu buli kirungi kyonna
33 Awo ne basitula okuva ku lusozi lwa
35 Buli abeetissi b’Essanduuko ya
36 Buli Ssanduuko ya