1 Awo Yesu n’abayigirizwa be, bwe baali basemberedde Besufaage ne Besaniya ebiriraanye Yerusaalemi, nga batuuse ku lusozi olwa Zeyituuni, Yesu n’atuma abayigirizwa be babiri babasooke mu maaso. 2 N’abalagira nti,
4 Abaatumibwa ne bagenda, ne balaba omwana gw’endogoyi nga guyimiridde ku luguudo, naye nga gusibiddwa ku muguwa wabweru w’ennyumba. Bwe baali bagusumulula, 5 abamu ku bantu abaali bayimiridde awo ne bababuuza nti, “Abange, omwana gw’endogoyi, musumulula gwa ki?” 6 Abayigirizwa ne baddamu nga Yesu bwe yabagamba, ne balyoka babakkiriza okugutwala. 7 Omwana gw’endogoyi ne baguleetera Yesu. Abayigirizwa be ne baddira ebyambalo byabwe ne babyaliira ku mugongo gwayo, Yesu n’agwebagala. 8 Awo abantu bangi abaali mu kibiina ne baaliira engoye zaabwe mu luguudo mwe yali agenda okuyita, abalala ne bamenya amatabi g’emiti mu nnimiro ezaali okumpi, nago ne bagaalira mu luguudo. 9 Abaali mu maaso ge n’abaali emabega we, bonna ne baleekaanira waggulu nti:
11 Awo Yesu n’atuuka mu Yerusaalemi, n’ayingira mu Yeekaalu. N’atunula, ne yeetoolooza amaaso wonna, naye obudde bwali buyise, n’afuluma n’agenda e Besaniya n’abayigirizwa be ekkumi n’ababiri.
12 Enkeera bwe baali bava e Besaniya, Yesu n’alumwa enjala. 13 N’alengera omutiini, nga guddugazza bulungi amalagala, n’agendayo alabe obanga anaasangako ebibala. Yagenda okugutuukako nga kuliko makoola meereere, kubanga si kye kyali ekiseera kyagwo okubaako ebibala. 14 Awo Yesu n’agamba omuti nti,
15 Bwe baatuuka mu Yerusaalemi n’ayingira mu Yeekaalu, n’atandika okugobamu abaali batundiramu n’abaali baguliramu, n’avuunika emmeeza z’abaali bawaanyisa ensimbi, n’avuunika n’entebe z’abatunzi b’amayiba. 16 Era n’ataganya muntu kuyisa kintu kyonna. 17 N’abayigiriza ng’agamba nti,
18 Bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka bwe baakiwulira, ne batandika okusala amagezi balabe bwe bayinza okumuzikiriza. Baali bamutya engeri ekibiina kyonna bwe kyali kyewuunya okuyigiriza kwe. 19 Obudde bwe bwawungeera Yesu n’abayigirizwa be ne bafuluma mu kibuga.[b]
20 Awo enkeera mu makya abayigirizwa be ne balaba omuti omutiini Yesu gwe yakolimira nga gukaze okuviira ddala ku kikolo! 21 Peetero n’ajjukira n’agamba Yesu nti, “Omuyigiriza, laba omutiini gwe wakolimira gukaze!”
22 Yesu n’agamba abayigirizwa be nti,
27 Yesu n’abayigirizwa be bwe baakomawo mu Yerusaalemi yali atambulatambula mu Yeekaalu, bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bajja gy’ali 28 ne bamubuuza nti, “Buyinza ki obukukoza bino? Era ani yakuwa obuyinza okukola bino?”
29 Naye Yesu n’abaddamu nti,
31 Ne bakubaganya ebirowoozo bokka na bokka nti, “Bwe tuddamu nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale, lwaki temwamukkiriza?’ 32 Naye, ate bwe tuddamu nti, ‘Kwava eri bantu.’ ” Baali batya ekibiina ky’abantu. Kubanga buli muntu yalowooza Yokaana okuba nnabbi.
33 Ne baddamu Yesu nti, “Tetumanyi.”
-
a Eno y’emu ku Zabbuli ezayimbibwanga okujjukira Embaga ey’Okuyitako
b Abalambuzi abajjanga ku mikolo egy’enjawulo mu Yerusaalemi, baali beetaaga okugula ebisolo eby’okuwaayo ku mbaga ezo ng’ebiragiro bwe byali ebyabaweebwa mu mateeka. Abasuubuzi baali bafudde oluggya Bannamawanga we baakuŋŋaaniranga mu Yeekaalu akatale, ekyali ekikyamu