1 “Laba, ntuma omubaka wange, alinkulembera era alirongoosa ekkubo nga sinnajja: era Mukama gwe munoonya alijja mu yeekaalu ye nga tebamanyiridde; omubaka w’endagaano gwe musanyukira, laba ajja,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
2 “Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olw’okujja kwe, era ani aliyimirira ye bw’alirabika? Kubanga ali ng’omuliro gw’oyo alongoosa effeeza era nga sabbuuni ow’abayoza. 3 Era alituula n’atunula ng’oyo alongoosa ffeeza n’agimalamu amasengere, era alirongoosa batabani ba Leevi, bakabona ba Katonda, era alibasengejja ng’ezaabu n’effeeza bwe bisengejjebwa; balyoke baweeyo ssaddaaka mu butuukirivu. 4 Awo ekiweebwayo ekya Yuda ne Yerusaalemi kiryoke kisanyuse Mukama, nga mu nnaku ez’edda era nga mu myaka egyayita.
5 “Era mu kiseera ekyo awatali kulonzalonza ndibasemberera nsale omusango. Ndiyanguwa okuwa obujulizi ku baloga ne ku benzi ne ku abo abalayira eby’obulimba, ne ku abo abalyazaamaanya omupakasi empeera ye; abanyigiriza nnamwandu ne mulekwa, era abajoogereza munnaggwanga, abatatya Mukama,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
6 “Kubanga nze Mukama sijjulukuka: mmwe, batabani ba Yakobo, noolwekyo siribazikiriza. 7 Okuva mu nnaku za bajjajjammwe mwakyuka ne mukyama okuva ku biragiro byange ne mutabikwata. Mudde gye ndi, nange nadda gye muli era nnaabasonyiwa,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.