1 Awo waaliwo omukulembeze w’Abayudaaya erinnya lye Nikodemo, Omufalisaayo, 2 n’ajja eri Yesu ekiro okwogera naye. N’amugamba nti, “Labbi, tumanyi nti oli muyigiriza eyava eri Katonda kubanga eby’amagero by’okola tewali ayinza kubikola okuggyako nga Katonda ali wamu naye.”
3 Yesu n’amuddamu nti,
4 Nikodemo n’amuddamu nti, “Omuntu ayinza atya okuzaalibwa bw’aba nga muntu mukulu? Ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina omulundi ogwokubiri, n’azaalibwa?”
5 Yesu kwe kumuddamu nti,
9 Nikodemo n’amubuuza nti, “Ebyo biyinza bitya okubaawo?”
10 Yesu n’amuddamu nti,
16
22 Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’abayigirizwa be ne bajja mu nsi y’e Buyudaaya, n’abeera eyo nabo, era n’abatiza. 23 Mu kiseera ekyo ne Yokaana yali abatiriza mu Enoni okumpi ne Salimu, kubanga awo waaliwo amazzi mangi, era ng’abantu bangi bajja okubatizibwa, 24 olwo nga tannateekebwa mu kkomera. 25 Ne wabaawo empaka wakati w’abayigirizwa ba Yokaana n’Omuyudaaya ku nsonga ey’okutukuzibwa. 26 Ne bajja eri Yokaana ne bamugamba nti, “Labbi, omuntu oli gwe wali naye emitala w’omugga Yoludaani, gwe wayogerako, laba abatiza era abantu bonna bagenda gy’ali.”
27 Yokaana n’abaddamu nti, “Omuntu tayinza kuba na kintu okuggyako nga kimuweereddwa okuva mu ggulu. 28 Mmwe mwennyini mukimanyi bulungi nga bwe nabagamba nti, ‘Si nze Kristo.’ Nze natumibwa okumukulembera. 29 Nannyini mugole ye awasizza, naye mukwano nnannyini mugole ayimirira ng’amuwulidde, era asanyukira nnyo eddoboozi ly’oyo awasizza. Noolwekyo essanyu lyange lituukiridde. 30 Kimugwanira ye okugulumizibwa naye nze okutoowazibwa.
31 “Oyo ava mu ggulu, yafuga byonna. Ow’omu nsi, aba wa mu nsi, era ayogera bya mu nsi. 32 Ye ategeeza ebyo bye yalaba ne bye yawulira, so tewali akkiriza by’ategeeza. 33 Naye oyo akkiriza by’ategeeza akakasa nti Katonda wa mazima. 34 Kubanga oyo eyatumwa Katonda ategeeza ebigambo bya Katonda, n’Omwoyo gw’agaba tagerebwa. 35 Kitaffe ayagala Omwana we era yamukwasa byonna mu mukono gwe. 36 Oyo akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo, naye oyo atakkiriza Mwana, taliraba bulamu era Katonda amusunguwalira.”
<- Yokaana 2Yokaana 4 ->