1 Ebyo bwe byaggwa, Yesu n’alabikira nate abayigirizwa be, ku nnyanja ey’e Tiberiya.[a] Yabalabikira bw’ati: 2 Simooni Peetero, ne Tomasi ayitibwa Didumo, ne Nassanayiri ow’e Kaana eky’e Ggaliraaya, ne batabani ba Zebbedaayo, n’abayigirizwa abalala babiri, bonna baali wamu. 3 Simooni Peetero n’abagamba nti, “ŋŋenda kuvuba.” Ne bamugamba nti, “Ka tugende ffenna.” Ne bagenda ne basaabala mu lyato. Naye ekiro ekyo kyonna ne batakwasaayo kintu.
4 Bwe bwali bukya, Yesu n’ayimirira ku lubalama, naye abayigirizwa ne batamutegeera.
5 Yesu n’ababuuza nti,
6 Yesu n’abagamba nti,
7 Awo omuyigirizwa oyo Yesu gwe yayagalanga ennyo n’agamba Peetero nti, “Oyo Mukama waffe!” Simooni Peetero bwe yakiwulira ne yeesiba olugoye kubanga yali mu kakutu, ne yeesuula mu mazzi. 8 Abayigirizwa abalala bo ne bajjira mu lyato nga basika akatimba akaalimu ebyennyanja. Tebaali wala n’olukalu, baali nga mita kyenda. 9 Awo bwe baatuuka ne basanga omuliro ogw’amanda nga gwaka, nga kuliko ekyennyanja n’omugaati.
10 Yesu n’abagamba nti,
11 Awo Simooni Peetero n’agenda n’awalula akatimba n’akatuusa ku lukalu, nga kajjudde ebyennyanja ebinene kikumi mu ataano mu bisatu. Newaakubadde nga byali bingi bwe bityo naye akatimba tekaakutuka. 12 Yesu n’abagamba nti,
15 Bwe baamala okulya, Yesu n’agamba Peetero nti,
16 Yesu n’amubuuza omulundi ogwokubiri nti,
17 Yesu n’abuuza Peetero omulundi ogwokusatu nti,
20 Peetero bwe yakyuka, n’alaba omuyigirizwa oli Yesu gwe yayagalanga ennyo nga naye agoberera. Oyo ye muyigiriza eyagalamira okumpi n’ekifuba kya Yesu nga balya ekyekiro eky’enkomerero, amale abuuze Yesu nti, “Mukama waffe ani agenda okukulyamu olukwe?” 21 Peetero bwe yamulaba kwe kubuuza Yesu nti, “Mukama wange, ate ono aliba atya?”
22 Yesu n’amugamba nti,
24 Oyo ye muyigirizwa akakasa bino era ye yabiwandiika. Era tumanyi nga by’ategeeza bya mazima.
25 Waliwo n’ebintu ebirala bingi Yesu bye yakola ebitaawandiikibwa. Era singa nabyo byawandiikibwa kinnakimu, ndowooza nga n’ensi zonna tezandigiddemu bitabo ebyandiwandiikiddwa.
-
a ye Nnyanja ey’e Ggaliraaya