15
Yuda Wakuzikirira
1 Awo
“Bagambe nti, ‘Kino Mukama kyagamba nti,
Ab’okuttibwa bagenda kuttibwa,
n’ab’ekitala bafe ekitala, n’ab’enjala bafe enjala,
n’ab’okuwambibwa bawambibwe.’
3 “Ndiweereza engeri nnya ez’okubazikiriza,” bw’ayogera
5 “Ani alikukwatirwa ekisa ggwe Yerusaalemi?
Oba ani alikukungubagira?
Oba ani alikyama okubuuza ebikufaako?
6 Mwanneegaana,” bw’ayogera Mukama .
“Temutya kudda nnyuma.
Noolwekyo mbagololeddeko omukono gwange
ne mbazikiriza.
Sikyasobola
kukukwatirwa kisa.
7 Era ndibakuŋŋunta n’ekitiiyo eky’amannyo
mu miryango gy’ebibuga eby’omu nsi.
Ndizikiriza abantu bange ne mbamalawo
kubanga tebaaleka makubo gaabwe.
8 Bannamwandu beeyongedde obungi
okusinga n’omusenyu gw’ennyanja.
Mu ttuntu mbaleetedde omuzikiriza
amalewo ababazaalira abalenzi abato.
Mbakubiddewo
obubalagaze n’entiisa.
9 Eyazaala omusanvu ayongobedde,
awejjawejja.
Enjuba ye egudde nga bukyali misana,
amaanyi gamuwedde, ensonyi zimukutte, awuunze, awuubadde.
N’abo abawonyeewo ndi wa kubasogga ekitala,
mu maaso ga balabe baabwe,”
bwayogera Mukama .
10 Zinsanze, mmange lwaki wanzaala
omuntu eggwanga lyonna gwe lirwanyisa ne likuluusanya?
Siwolanga wadde okweyazika,
kyokka buli muntu ankolimira.
11
“Ddala ndikununula olw’ekigendererwa ekirungi,
ddala ndireetera abalabe bo okukwegayirira,
mu biseera eby’okuluma obujiji, mu biseera eby’akabi.
12 “Omusajja ayinza okumenya ekikomo
oba ekyuma eky’omu bukiikakkono?
13 “Ndiwaayo eby’obugagga byo n’ebintu byo eby’omuwendo ennyo
binyagibwe awatali kusasulwa,
olw’ebibi byo byonna
ebikoleddwa mu ggwanga lyonna.
14 Ndibafuula abasibe b’abalabe bammwe
mu ggwanga lye mutamanyi,
kubanga obusungu bwange bwakukoleeza omuliro
ogunaabookya gubamalewo.”
Yeremiya Yeekaabirako
15 Ayi Mukama ggwe omanyi byonna.
Nzijukira ondabirire.
Ompalanire eggwanga ku abo abanjigganya.
Mu kugumiikiriza kwo okunene tontwala.
Lowooza ku ngeri gye mbonyeebonye ku lulwo.
16 Ebigambo byo bwe byanzijira, ne mbirya,
byali ssanyu era okujaguza kw’omutima gwange.
Kubanga mpitibwa linnya lyo,
Ayi Mukama Katonda ow’Eggye.
17 Situulangako mu kuŋŋaaniro ly’abo ab’ebinyumu
era sibeerangako mu biduula nabo.
Natuulanga nzekka kubanga naliko omukono gwo,
era wandeetera okwekyawa.
18 Lwaki okulumwa kwange tekukoma
era n’ekiwundu kyange ne kitawona?
Onomberera ng’akagga akalimbalimba
ng’ensulo ekalira?
19 Noolwekyo kino
“Bwe muneenenya,
ndibakomyawo musobole okumpeereza;
bwe mulyogera ebigambo ebisaana so si ebitasaanidde,
mulibeera boogezi bange.
Leka abantu bano be baba bajja gy’oli,
so si ggwe okugenda gye bali.
20 Ndikufuula ekisenge eri abantu bano,
ekisenge ekinywezebbwa eky’ekikomo.
Balikulwanyisa
naye tebalikuwangula,
kubanga ndi naawe,
okukununula, n’okukulokola,”
bw’ayogera Mukama .
21 “Ndikununula okuva mu mukono gw’abakozi b’ebibi