1 Ebigambo ebyayogerwa Yeremiya, mutabani wa Kirukiya, ow’oku bakabona abaali mu Anasosi mu nsi ya Benyamini. 2Mukama Katonda yayogera naye mu mirembe gya Yosiya, kabaka wa Yuda, mutabani wa Amoni, nga yakafugira emyaka kkumi n’esatu, 3 ne mu biro bya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, okutuusa mu mwezi ogwokutaano, ogw’omwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, abantu b’e Yerusaalemi lwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse.
Okuyitibwa kwa Yeremiya
4 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, ng’agamba nti,
5 “Nakumanya bwe nnali sinnakubumba mu lubuto lwa maama wo;
nga tonnava mu lubuto n’akutukuza.
Nakulonda okubeera nnabbi eri amawanga.”
6 Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Laba nno, Mukama Katonda! Simanyi kwogera mu bantu, ndi mwana muto.” 7 Naye Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Toyogera nti, ‘Ndi mwana bwana;’ kubanga yonna gye nnaakutumanga gy’onoogendanga, era byonna bye nnaakulagiranga by’onooyogeranga. 8 Tobatyanga, kubanga nze ndi naawe okukuwonya,” bw’ayogera Mukama Katonda.
9 Awo Mukama Katonda n’agolola omukono gwe, n’akwata ku mimwa gyange, n’aŋŋamba, nti, “Wuliriza. Nkuwa ebigambo by’onooyogeranga. 10 Leero nkutaddewo okuba n’obuyinza ku mawanga era ne ku bwakabaka. Okusimbula n’okumenya, okuzikiriza n’okuwamba; okuzimba n’okusimba.” 11 Ekigambo kya Mukama Katonda ate ne kinzijira nga kigamba nti, “Yeremiya kiki ekyo ky’olaba?”
Ne ŋŋamba nti, “Ndaba ettabi ly’omuti ogw’omulozi.”