1 Awo mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira, nalaba Mukama ng’atudde ku ntebe empanvu ng’agulumizibbwa, n’ekirenge ky’ekyambalo kye nga kijjula yeekaalu. 2 Waggulu we yali waali wayimiriddewo basseraafi: buli omu ng’alina ebiwaawaatiro mukaaga, ebibiri nga bye bibikka ku maaso ge, ebibiri nga bye bibikka ku bigere bye, n’ebibiri ng’abibuusa. 3 Buli omu yali ng’ayogera ne munne n’eddoboozi ery’omwanguka nti,
5 Ne ndyoka nkaaba nti, “Zinsanze nze! Nfudde mpeddewo! Kubanga ndi muntu ow’emimwa egitali mirongoofu, era mbeera wakati mu bantu ab’emimwa egitali mirongoofu; kubanga amaaso gange galabye Kabaka,
6 Olwo omu ku basseraafi n’alyoka abuuka n’ajja gye ndi ng’alina eryanda eryaka mu ngalo ze, lye yali aggye ku kyoto[a] ne nnamagalo. 7 Era n’alikomya ku kamwa kange, n’agamba nti, “Laba, lino likoonye ku mimwa gyo, era obutali butuukirivu bwo bukuggyiddwako. Era n’ekibi kyo kikusonyiyiddwa.”
8 Ne mpulira eddoboozi lya Mukama ng’abuuza nti, “Naatuma ani, era ani anaagenda ku lwaffe?”
9 Nayogera nti, “Genda obuulire abantu bano nti,
11 Ne ndyoka njogera nti, “Mukama wange birituusa ddi okuba bwe biti?”
-
a Ekyoto ekyo ky’ekyoto eky’obuwoowo ekiri wakati w’Awatukuvu.