1 Awo olwatuuka, mu mwaka ogw’ekkumi n’ena ogw’obufuzi bwa kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’ayambuka okulumba ebibuga byonna ebya Yuda ebyali bizimbiddwako bbugwe n’abiwamba. 2 Awo kabaka w’e Bwasuli n’asindika Labusake omuduumizi we ow’oku ntikko okuva e Lakisi n’eggye eddene ayolekere Yerusaalemi ewa kabaka Keezeekiya. Omuduumizi ono n’asimba amakanda ku mabbali g’omukutu gw’amazzi omunene ku luguudo olugenda ku Nnimiro y’Omwozi w’Engoye. 3 Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, eyali akulira olubiri, ne Sebuna omuwandiisi, ne Yoswa mutabani wa Asafu eyavunaanyizibwanga ebiwandiiko ne bafuluma okumusisinkana.
4 Labusake n’abagamba nti,
11 Awo Eriyakimu ne Sebuna ne Yoswa ne bagamba Labusake nti, “Tukwegayiridde yogera n’abaddu bo mu Lusuuli kubanga tulumanyi, toyogera naffe mu Luyudaaya* Oluyudaaya lwe lulimi olwekikungu olwakozesebwanga mu biro ebyo. Oluyudaaya lwafuukira ddala olulimi Abayudaaya lwe bakozesa okuva mu 5 bc. ng’abantu abali ku bbugwe bawulira.”
12 Naye Labusake n’ayogera nti, “Ebyo ebigambo
13 Awo Labusake n’ayimirira n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka mu lulimi olw’Abayudaaya nti, “Muwulire ebigambo bya kabaka omukulu, kabaka w’e Bwasuli. 14 Kabaka agambye bw’ati nti, Temukkiriza Keezeekiya kubalimbalimba tayinza kubawonya. 15 Temukkiriza Keezeekiya kubasigula ng’abagamba nti, ‘
16 “Temuwuliriza Keezeekiya kubanga bw’ati bw’ayogera kabaka w’e Bwasuli nti, ‘Mutabagane nange mufulume mujje gye ndi, olwo buli muntu ku mmwe lw’alirya ku muzabbibu gwe na buli muntu ku mutiini gwe, era buli omu alinywa ku mazzi ag’omu kidiba kye, 17 okutuusa lwe ndijja ne mbatwalira ddala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi ey’eŋŋaano ne wayini, ensi ey’emigaati n’ennimiro ez’emizabbibu.’
18 “Mwekuume Keezeekiya aleme okubasendasenda ng’ayogera nti, ‘
21 Kyokka bo baasirika busirisi tebaddamu, kubanga kabaka yali alagidde nti, “Temumuddamu.”
22 Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali akulira olubiri ne Sebuna Omuwandiisi ne Yoswa mutabani wa Asafu Omukuumi w’ebiwandiiko, ne baddayo eri Keezeekiya nga bayuzizza engoye zaabwe, ne bamubuulira ebigambo bya Labusake.
<- Isaaya 35Isaaya 37 ->-
a Oluyudaaya lwe lulimi olwekikungu olwakozesebwanga mu biro ebyo. Oluyudaaya lwafuukira ddala olulimi Abayudaaya lwe bakozesa okuva mu 5 bc.