16
1 “Muweereze abaana b’endiga
eri oyo afuga ensi,
okuva e Seera, ng’oyita mu ddungu,
okutuuka ku lusozi lwa Muwala wa Sayuuni.
2 Ng’ennyonyi ezabulwako ekisu
n’ezisaasaana nga zidda eno n’eri,
bwe batyo bwe baliba abawala ba Mowaabu
awasomokerwa Alunooni.[a]
3 “Tuwe ku magezi,
tubuulire, tukole tutya?
Mutusiikirize mubeere ng’ekittuluze
wakati mu ttuntu,
Abajja bagobebwa mubakweke,
abajja badaaga temubalyamu lukwe.
4 Muleke aba Mowaabu abajja bagobebwa babeere nammwe.
Mubataakirize oyo ayagala okubamalawo.”
Omujoozi bw’aweddewo,
n’okubetentebwa ne kuggwaawo;
omulumbaganyi aliggwaawo mu nsi.
5 Entebe ey’obwakabaka eryoke etekebwewo mu kwagala,
era ku yo kutuuleko omufuzi ow’omu nnyumba ya Dawudi
alamula mu bwesigwa
era anoonya obwenkanya
era ayanguwa okukola eby’obutuukirivu.
6 Tuwulidde amalala ga Mowaabu,
nga bw’ajjudde okwemanya,
n’amalala ge n’okuvuma;
naye okwemanya kwe tekugasa.
7 Noolwekyo leka Mowaabu akaabe,
leka buli muntu akaabire ku Mowaabu.
Mukungubage,
musaalirwe obugaati bw’emizabbibu egy’e Kirukalesesi.
8 Ennimiro ez’e Kesuboni zikaze,
n’emizabbibu gy’e Sibuma giweddewo.
Abafuzi b’amawanga batemeddewo ddala
emiti gyabwe egyasinganga obulungi,
egyabunanga ne gituuka e Yazeri
nga giggukira mu ddungu
n’emitunsi nga gibuna
nga gituukira ddala mu nnyanja.
9 Noolwekyo kyenva nkaaba amaziga nga Yazeri bw’akaaba
olw’omuzabbibu ogw’e Sibuma.
Nakufukirira nkutobye n’amaziga gange,
ggwe Kesuboni ne Ereyale:
kubanga essanyu ery’ebibala byo
n’ebyokukungula byo lizikiziddwa.
10 Ennimiro engimu ziweddemu essanyu n’okweyagala;
ne mu nnimiro z’emizabbibu temuliba ayimba wadde aleekaana;
mu masogolero temulibaamu musogozi asogoleramu nvinnyo;
okuleekaana kw’omusogozi ng’asogola kukomye.
11 Omutima gwange kyeguva gukaabira Mowaabu mu ddoboozi ng’ery’ennanga,
emmeeme yange munda n’ekaabira Kirukeresi.
12 Awo Mowaabu bw’alyeyanjula, mu bifo ebigulumivu,
alyekooya yekka;
bw’aligenda okusamira,
tekirimuyamba.
13 Ekyo kye kigambo
-
a Alunooni mugga mukulu mu Mowaabu; guli nsalo ey’obukiikakkono