1 Kyekivudde kitusaanira okussaayo ennyo omwoyo ku bintu bye twawulira, si kulwa nga tuwaba ne tubivaako. 2 Obanga ekigambo ekyayogerwa bamalayika kyakola, na buli eyayonoona era n’ajeemera ekigambo ekyo, yaweebwa ekibonerezo ekimusaanira, 3 ffe tuliwona tutya bwe tuliragajjalira obulokozi obukulu obwenkana awo? Obulokozi obwo bwasooka okwogerwa Mukama waffe, ne bulyoka bukakasibwa abo abaabuwulira. 4 Katonda yakikakasiza mu bubonero ne mu by’ekitalo ne mu byamagero abitali bimu, era ne mu birabo ebya Mwoyo Mutukuvu bye yagaba nga bwe yayagala.
5 Ensi empya gye twogerako si yakufugibwa bamalayika. 6 Waliwo mu byawandiikibwa, omuntu we yagambira Katonda nti,
10 Katonda oyo eyatonderwa ebintu byonna, era mu oyo Yesu Kristo ebintu byonna mwe byatonderwa, eyalondebwa okuleeta abaana abangi mu kitiibwa. Era kyasaanira Yesu okubonyaabonyezebwa, ng’omukulembeze omutuukirivu, okubaleetera obulokozi. 11 Oyo atukuza era n’abo abatukuzibwa bava mu omu bonna. Noolwekyo takwatibwa nsonyi kubayita baganda be. 12 Agamba nti,
14 Olw’okubanga abaana balina omubiri n’omusaayi, naye yalina omubiri n’omusaayi, alyoke azikirize oyo alina amaanyi ag’okufa, ye Setaani. 15 Yakikola alyoke awe eddembe abo bonna abaali bamaze obulamu bwabwe bwonna mu buddu olw’entiisa y’okufa. 16 Kubanga eky’amazima kiri nti tayamba bamalayika, ayamba zzadde lya Ibulayimu. 17 Kyekyava kimugwanira mu byonna okufaananyizibwa baganda be, alyoke abeerenga Kabona Asinga Obukulu asaasira era omwesigwa mu kuweereza Katonda. Ekyo yakikola alyoke atangirire ebibi by’abantu. 18 Yabonaabona, ye yennyini ng’akemebwa, alyoke ayambe abo abakemebwa.
<- Abaebbulaniya 1Abaebbulaniya 3 ->