8 Olunaku lwa Ssabbiiti lujjukirenga era olutukuzenga. 9 Kolanga emirimu gyo, ofaabiine mu nnaku omukaaga, 10 naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda wo. Ku lunaku olwo tokolerangako mulimu gwonna; ggwe, wadde mutabani wo, wadde muwala wo, wadde omuweereza wo omusajja, oba omuweereza wo omukazi, wadde ensolo zo, wadde omugenyi ali omumwo. 11 Kubanga mu nnaku omukaaga Mukama Katonda mwe yakolera eggulu n’ensi, n’ennyanja, ne byonna ebibirimu, n’awummulira ku lunaku olw’omusanvu. Mukama kyeyava awa omukisa olunaku olwa Ssabbiiti n’alutukuza.
12 Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, olyoke owangaale mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.
13 Tottanga.
14 Toyendanga.
15 Tobbanga.
16 Towaayirizanga muntu munno.
17 Teweegombanga nnyumba ya muliraanwa wo. Teweegombanga mukazi wa muliraanwa wo, newaakubadde omuweereza we omusajja, newaakubadde omuweereza we omukazi, wadde ente ye, oba endogoyi ye, oba ekintu kyonna ekya muntu munno.”
18 Awo abantu bwe baalaba okumyansa kw’eraddu, ne bawulira n’okubwatuka kw’eggulu awamu n’eddoboozi ly’akagombe, ne balaba n’olusozi nga lunyooka ne bakankana nga batidde nnyo. Ne bayimirira walako, 19 ne bagamba Musa nti, “Ggwe yogera naffe, tujja kubiwuliriza. Naye Katonda aleme kwogera naffe tuleme okufa.”
21 Abantu ne basigala nga bayimiridde walako, naye Musa n’asembera mu kizikiza ekikwafu Katonda mwe yali. 22Mukama n’agamba Musa nti, “Bw’oti bw’oba otegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Mmwe bennyini mwerabiddeko nga njogera nammwe nga nsinziira mu ggulu. 23 Temwekoleranga bakatonda balala wendi; temwekoleranga bakatonda ba ffeeza oba bakatonda ba zaabu.