19 Embalaasi za Falaawo, n’amagaali ge, ne basajja be abeebagadde embalaasi bwe baayingira mu nnyanja, Mukama n’akomyawo amazzi ag’ennyanja ne gabasaanikira; naye nga bo abaana ba Isirayiri batambulira ku ttaka kkalu wakati mu nnyanja. 20 Awo Miryamu, nnabbi omukazi era mwannyina wa Alooni, n’akwata ekitaasa; n’abakazi abalala ne bamugoberera nga balina ebitaasa era nga bwe bazina. 21 Miryamu n’abayimbira bw’ati nti,
“Muyimbire Mukama,
kubanga awangudde n’ekitiibwa kingi.
Asudde mu nnyanja
embalaasi n’agyebagadde.”
Amazzi g’e Mala n’aga Erimu
22 Awo Musa n’akulembera Isirayiri, n’abaggya ku Nnyanja Emyufu, ne bayingirira eddungu ly’e Ssuuli. Ne batambulira ennaku ssatu mu ddungu nga tebalabye ku mazzi. 23 Bwe baatuuka e Mala, ne batasobola kunywa ku mazzi gaawo, kubanga gaali gakaawa: era eyo y’ensonga eyatuumisa ekifo ekyo Mala. 24 Abantu ne beemulugunyiza Musa, ne bamubuuza nti, “Tunywe ki?”
25 Musa ne yeegayirira Mukama; Mukama n’amulaga ekitundu ky’omuti. Bwe yakisuula mu mazzi, amazzi ne gaba malungi okunywa.
Mu kifo kino Mukama we yabaweera ekiragiro kino n’etteeka, era n’abagezesa 26 ng’agamba nti, “Singa muwuliriza eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe n’obwegendereza, ne mukola ebyo by’alaba nga bituufu, ne mussaayo omwoyo ku biragiro bye, era ne mugondera amateeka ge, sigenda kubaleetako ndwadde n’emu, ng’ezo ze naleetera Abamisiri, kubanga nze Mukama, nze mbawonya endwadde zammwe.”
27 Awo ne batuuka mu Erimu, awaali ensulo ekkumi n’ebbiri, n’enkindu ensanvu; ne bakuba awo eweema zaabwe okumpi n’amazzi.