32 Wayini waabwe ava mu terekero lya wayini wa Sodomu,
n’ennimiro z’emizabbibu za Ggomola;
ezzabbibu zaabwe zabbibu za butwa,
ebirimba byazo bikaawa;
33 wayini waazo bwe butwa bw’emisota
obusagwa obukambwe obw’amasalambwa.
34 Ekyo saakyeterekera,
nga kuliko n’envumbo mu mawanika gange?
35 Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula.
Luliba lumu ebigere byabwe ne biseerera,
obudde bwabwe obw’okuzikirira busembedde,
n’okubonerezebwa kwabwe kubafubutukirako.
36Mukama Katonda alisalira abantu omusango mu bwenkanya,
alisaasira abaweereza be,
bw’aliraba ng’amaanyi gonna gabaweddemu,
omuddu n’ow’eddembe nga tewasigadde n’omu.
37 N’alyoka abuuza nti, Kale nno bakatonda baabwe bali ludda wa,
olwazi mwe beekweka.
38 Baani abaalyanga amasavu ku ssaddaaka zaabwe,
ne banywa envinnyo ey’ekiweebwayo ekyokunywa?
Basituke bajje babayambe,
kale babawe obubudamo babakuume!
39 Mulabe kaakano, nga nze kennyini, nze Ye!
Tewali katonda mulala wabula Nze;
nzita era ne nzuukiza,
nfumita era ne mponya;
era tewali atangira mukono gwange nga gukola.
40 Ngolola omukono gwange eri eggulu ne nangirira nti,
ddala ddala nga bwe ndi omulamu emirembe gyonna
41 bwe mpagala ekitala kyange ekimasamasa,
n’omukono gwange ne gukikwata nga nsala emisango,
nnaawalananga abalabe bange,
ne neesasuzanga eri abanaankyawanga.
42 Obusaale bwange ndibutamiiza omusaayi,
n’ekitala kyange kirirya ennyama,
n’omusaayi gw’abattiddwa n’abawambiddwa,
n’ogw’emitwe egy’abakulembeze b’abalabe.
43 Mujaguze mmwe amawanga awamu n’abantu be,
kubanga aliwalanira omusaayi gw’abaweereza be,
aliwalana abalabe be,
era alitangirira olw’ensi ye n’abantu be.
44 Awo Musa n’ajja awamu ne Yoswa mutabani wa Nuuni, n’addamu ebigambo byonna eby’oluyimba olwo ng’abantu bonna bawulira. 45 Musa bwe yamala okuddamu ebigambo ebyo byonna eri abaana ba Isirayiri, 46 n’abagamba nti, “Mukwate ku mutima gwammwe ebigambo byonna bye mbategeezezza leero n’obuwombeefu obungi, mulyoke mulagire abaana bammwe bagonderenga n’obwegendereza ebigambo byonna eby’amateeka gano. 47 Ebigambo ebyo si bya kusaagasaaga, wabula bye bigambo ebikwatira ddala ku bulamu bwammwe bwennyini. Okusinziira ku bigambo bino, mugenda kuwangaala nga muli mu nsi gye mugenda okusomokera omugga Yoludaani okugifuna.”
Okufa kwa Musa Kulangibwa
48 Ku lunaku olwo lwennyini Mukama Katonda n’agamba Musa bw’ati nti, 49 “Yambuka olinnyerinnye ku Lusozi Nebo oluli mu nsozi za Abalimu mu nsi ya Mowaabu, osusse amaaso Yeriko olengere ensi ya Kanani gy’empa abaana ba Isirayiri okuba obutaka bwabwe obw’enkalakkalira. 50 Ku lusozi olwo lw’ojja okulinnya kw’olifiira okuŋŋaanyizibwe eri abantu bo, nga muganda wo Alooni bwe yafiira ku lusozi Koola, n’akuŋŋaanyizibwa eri abantu be. 51 Kubanga mwembi mwanziggyamu obwesige mu maaso g’abaana ba Isirayiri ku mazzi g’e Meriba-Kadesi mu ddungu ly’e Zini, olw’okulemwa okussa ekitiibwa ekituukiridde mu butukuvu bwange mu maaso g’abaana ba Isirayiri. 52 Noolwekyo ensi ojja kugirengera bulengezi, so toligiyingiramu, ensi gye mpa abaana ba Isirayiri.”