1 Awo Musa ng’ali n’abakulu abakulembeze ba Isirayiri n’alagira abantu nti, “Ebiragiro byonna bye mbategeeza leero mubikuumenga. 2 Bwe mumalanga okusomoka omugga Yoludaani n’oyingira mu nsi
9 Awo Musa ng’ali n’Abaleevi, bakabona, n’agamba Abayisirayiri bonna nti, “Sirika owulire ggwe Isirayiri! Ku lunaku lwa leero lwennyini ofuuse eggwanga lya
11 Ku lunaku lwe lumu Musa yakuutira abantu bw’ati nti, 12 Bwe mulimala okusomoka omugga Yoludaani, ab’omu bika bino baliyimirira ku Lusozi Gerizimu ne basabira abantu omukisa: Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Yusufu, ne Benyamini. 13 Ate ab’omu bika bino baliyimirira ku Lusozi Ebali ne balangirira ebikolimo: Lewubeeni, ne Gaadi, ne Aseri, ne Zebbulooni, ne Ddaani, ne Nafutaali. 14 Awo Abaleevi balirangirira n’eddoboozi ddene eri abantu bonna Abayisirayiri nti:
15 “Akolimirwe omuntu yenna akola ekifaananyi ekitali Katonda oba abumba ekintu ng’ekyo kyonna
16 “Akolimirwe omuntu yenna atassaamu kitiibwa kitaawe oba nnyina.”
17 “Akolimirwe omuntu yenna akyusa ekituuti ekiraga ensalo ya muliraanwa we.”
18 “Akolimirwe omuntu yenna aggya omuzibe w’amaaso mu kkubo ettuufu n’amubuza.”
19 “Akolimirwe omuntu yenna atalaga bwenkanya eri bannamawanga, oba bamulekwa oba bannamwandu.”
20 “Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne muka kitaawe, kubanga ekitanda kya kitaawe akimalamu ekitiibwa.”
21 “Akolimirwe omuntu yenna akola ebyobukaba n’ensolo.”
22 “Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne mwannyina omuwala wa kitaawe, oba muwala wa nnyina.”
23 “Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne nnyina wa mukazi we.”
24 “Akolimirwe omuntu yenna atemula munne.”
25 “Akolimirwe omuntu yenna akkiriza okugulirirwa atte munne ataliiko musango.”
26 “Akolimirwe omuntu yenna atagondera bigambo ebiri mu mateeka gano.”