4 Ente[a] temugisibanga mimwa bwe munaabanga mugikozesa okuwuula emmere ey’empeke.
5 Abooluganda bwe banaabanga babeera wamu, omu n’afa nga talina mwana wabulenzi, nnamwandu we tafumbirwanga musajja atali wa mu luggya lwa bba. Muganda wa bba anaatwalanga nnamwandu oyo n’amuwasa, n’atuukiriza obuvunaanyizibwa bwa muganda we omugenzi eri nnamwandu oyo. 6 Omwana owoobulenzi gw’anaasookanga okuzaala y’anaasikiranga erinnya lya muganda we omugenzi, bwe lityo erinnya ly’omugenzi ne litasangulwawo mu Isirayiri. 7 Naye omusajja bw’anaabanga tayagala kuwasa nnamwandu wa muganda we, nnamwandu oyo anaagendanga eri abakulembeze abakulu ab’omu kibuga kye, ku wankaaki, n’abagamba nti, “Muganda wa baze agaanye okuwangaaza erinnya lya muganda we mu Isirayiri. Kubanga agaanye okutuukiriza gye ndi obuvunaanyizibwa bw’alina ku muganda we.” 8 Abakulembeze abakulu b’omu kibuga banaayitanga omusajja oyo ne boogera naye. Bw’anaakakanyalanga n’agamba nti, “Saagala kumuwasa,” 9 kale, nnamwandu wa muganda we anaatambulanga n’alaga awali omusajja oyo mu maaso g’abakulembeze abakulu b’omu kibuga, anaamwambulangamu engatto mu kigere kye ekimu, era anaamuwandiranga amalusu mu maaso n’ayogera nti, “Bwe kityo bwe kinaakolebwanga ku musajja atazimba lunyiriri lwa luggya lwa muganda we.” 10 Oluggya lw’omusajja oyo lunaamanyibwanga mu Isirayiri ng’Oluggya lw’Omwambule Engatto.
11 Bwe wanaabangawo abasajja babiri abalwana, mukazi w’omu bw’anajjanga okutaasa bba ku mulabe we n’amukwata ebitundu bye eby’ekyama, 12 omutemangako omukono gwe. Tomusaasiranga.
13 Tossanga mu nsawo zo mayinja gapima ga ngeri bbiri ez’enjawulo, ng’erimu lizitowa, kyokka nga linnaalyo liwewuka. 14 Tobeeranga na bipima bya ngeri bbiri eby’enjawulo, ng’ekimu kinene, kyokka nga kinnaakyo kitono. 15 Kikugwanira obeerenga n’amayinja agapima obuzito obutuufu, era n’ebipima ebirala eby’amazima era ebituufu, olyoke owangaalenga ng’oli mu nsi
17 Teweerabiranga Abamaleki bye baakukola bwe wali mu lugendo lwo ng’ova mu Misiri. 18 Bwe wali okooye nnyo nga n’amaanyi gakuweddemu, baakusanga mu lugendo lwo olwo, ne balumba abo bonna abaali basembyeyo emabega wo ne babatta; Katonda nga tebamutya. 19 Bw’olimala okutuuka mu nsi
-
a Ente ezo zaakozesebwanga okuwuula emmere ey’empeke. Ente yasibibwanga ku lubengo olunene, ebigere byayo ne birinnyirira empeke, nga biggya ebikuta ku mpeke, ate olubengo nga bwe lussa empeke okuzifuulamu obuwunga.