1 Muli baana ba
3 Temulyanga nnyama ya kisolo kyonna ekitali kirongoofu eky’omuzizo. 4 Bino bye bisolo bye munaalyanga: ente, endiga, embuzi, 5 enjaza, empeewo, ennangaazi, embulabuzi, entamu, enteŋŋo n’endiga ez’omu nsiko. 6 Era munaayinzanga okulya ensolo ezirina ebinuulo ebyawulamu wabiri nga zizza n’obwenkulumu. 7 Naye nno ku ezo ezirina ebinuulo ebyawulamu oba nga zizza obwenkulumu, zino temuziryanga: eŋŋamira, akamyu, n’omusu. Kubanga newaakubadde nga zizza obwenkulumu, ekinuulo kyazo sikyawulemu, si nnongoofu za muzizo gye muli. 8 Embizzi nazo si nnongoofu, kubanga newaakubadde zirina ekinuulo ekyawulemu, naye tezizza bwenkulumu, noolwekyo zinaabanga za muzizo gye muli. Ennyama yaazo temugiryanga so temukwatanga wadde okukoma ku mirambo gyazo.
9 Mu biramu ebibeera mu mazzi, munaalyanga ebyo ebirina amaggwa ku mugongo n’amagalagamba. 10 Naye ebyo byonna ebitalina maggwa na magalagamba temubiryanga, kubanga si birongoofu gye muli.
11 Ennyonyi ennongoofu munaaziryanga. 12 Naye zino temuuziryenga: empungu, ennunda, makwanzi, 13 wonzi, eddiirawamu, kamunye n’ez’ekika kye, 14 namuŋŋoona owa buli ngeri; 15 ne maaya, n’olubugabuga, olusove, enkambo n’ekika kyazo, 16 ekiwuugulu, n’ekkukufu, ekiwuugulu eky’amatu; 17 n’ekimbala, n’ensega, n’enkobyokkobyo; 18 ne kasiida, ne ssekanyolya, n’ekika kye, n’ekkookootezi, n’ekinyira.
19 Ebiwuka byonna ebirina ebiwaawaatiro nga bigendera mu kibinja si birongoofu gye muli, temuubiryenga. 20 Ekiramu kyonna ekirongoofu ekirina ebiwaawaatiro munaayinzanga okukirya.
21 Ekintu kyonna kye munaasanganga nga kimaze okufa, temukiryanga. Onooyinzanga okukiwanga munnaggwanga anaabeeranga mu bibuga byo ye n’akirya, oba onooyinzanga okukitunzanga munnaggwanga. Kubanga oli ggwanga ettukuvu eri
22 Buli lw’onookungulanga ebibala byo nga biva mu nnimiro yo buli mwaka, weegenderezanga n’ossangako wabbali ekitundu kyabyo eky’ekkumi. 23 Onoolyanga ekitundu eky’ekkumi eky’emmere y’empeke, n’ekya wayini omusu, n’eky’amafuta, n’eky’ebibereberye eby’ebisibo byo n’eby’amagana go. Onookiriiranga mu maaso ga
28 Buli myaka esatu, ku buli nkomerero ya mwaka ogwokusatu, onooleetanga ebitundu eby’ekkumi byonna ebyo eby’ebibala byo byonna eby’omwaka ogwo, n’obiterekanga mu mawanika mu bibuga byo. 29 Kale nno, Omuleevi kubanga taabenga na mugabo wadde ebyobusika nga ggwe, ne bamulekwa abatalina bakitaabwe ne nnamwandu; abo bonna abanaabanga babeera mu bibuga byo, bajjenga balye okutuusa lwe banakkutanga; bw’atyo
-
a okwemwangako enviiri ez’omu bwenyi nga mufiiriddwa egyo gyali mize gya kusinza balubaale.