2 Naye ekigambo kya
5 Lekobowaamu n’abeera mu Yerusaalemi, n’azimba ebibuga eby’okwerinda mu Yuda: 6 n’azimba Besirekemu, ne Etamu, ne Tekowa, 7 ne Besuzuli, ne Soko, ne Adulamu, 8 ne Gaasi, ne Malesa, ne Zifu, 9 ne Adorayimu, ne Lakisi, ne Azeka, 10 ne Zola, ne Ayalooni, ne Kebbulooni nga bye bibuga ebiriko bbugwe ebyali mu Yuda ne Benyamini. 11 N’anyweza bbugwe waabyo, n’ateekayo abaduumizi, n’emmere ey’okwerinzisa n’amafuta ag’omuzeeyituuni ne wayini. 12 N’ateekayo engabo n’amafumu mu bibuga byonna, n’abinywereza ddala, Yuda ne Benyamini ne biba bibye.
13 Bakabona n’Abaleevi okuva mu Isirayiri yonna ne bakkiriziganya naye. 14 Abaleevi ne bava mu butaka bwabwe ne baleka n’eby’obugagga bwabwe ne bajja mu Yuda ne Yerusaalemi, kubanga Yerobowaamu ne batabani be babagobaganya era ne babagaana okuweereza
18 Lekobowaamu n’awasa Makalasi muwala wa Yerimosi mutabani wa Dawudi, ne Abikayiri muwala wa Eriyaabu mutabani wa Yese, 19 Makalasi n’azaalira Lekobowaamu abaana aboobulenzi: Yewusi, ne Semaliya ne Zakamu. 20 Oluvannyuma Lekobowaamu n’awasa Maaka muwala wa Abusaalomu, n’amuzaalira Abiya, ne Attayi, ne Ziza ne Seromisi. 21 Lekobowaamu n’ayagala nnyo Maaka muwala wa Abusaalomu okusinga bakazi be abalala. Bonna awamu n’awasa abakazi kkumi na munaana n’afunayo n’abalala nkaaga, abaamuzaalira abaana aboobulenzi amakumi abiri mu munaana n’abaana aboobuwala nkaaga.
22 Lekobowaamu n’alonda Abiya mutabani wa Maaka okuba omukulu wa baganda be, ng’agenderera okumufuula kabaka. 23 N’akola eky’amagezi, n’asaasaanya batabani be abamu mu masaza ag’enjawulo aga Yuda ne Benyamini, ne mu bibuga byonna ebyaliko bbugwe, n’abawa eby’obugagga bingi, n’abafunira n’abakazi bangi.
<- 2 Ebyomumirembe 102 Ebyomumirembe 12 ->