1 Awo omuvubuka Samwiri n’aweerezanga mu maaso ga Mukama ng’alabirirwa Eri. Mu biro ebyo ekigambo kya Mukama kyali kya bbula, era nga n’okwolesebwa kwa bbalirirwe.
2 Mu kiseera ekyo, Eri eyali akaddiye, n’amaaso ge nga gayimbadde, yali awumuddeko mu kisenge kye. 3 Ettabaaza[a] ya Katonda yali tennazikira nga ne Samwiri yeebase mu yeekaalu[b] ya Mukama ng’aliraanye essanduuko ya Katonda we yali. 4 Awo Mukama n’akoowoola Samwiri nti, “Samwiri, Samwiri!”
11 Awo Mukama n’agamba Samwiri nti, “Laba, ndikumpi okukola ekigambo mu Isirayiri ekirireetera amatu ga buli muntu alikiwulira okuwaawaala. 12 Ku lunaku olwo ndituukiriza ebyo byonna bye nnali njogedde ku nnyumba ya Eri. 13 Namulabula nti ndibonereza ennyumba ye ennaku zonna, olw’obutali butuukirivu bwa batabani be abavvoola Katonda, n’akimanya naye n’atabaziyiza. 14 Kyenva ndayirira ennyumba ya Eri nga ŋŋamba nti, ‘Omusango oguli ku nnyumba ya Eri tegulisonyiyibwa na ssaddaaka newaakubadde ekiweebwayo ennaku zonna.’ ”
17 Eri n’amubuuza nti, “Kiki kye yakugambye? Tokinkisa. Katonda akuleeteko ekibonerezo eky’amaanyi bw’onoobaako ekigambo kyonna ky’onkisizza ku ebyo bye yakugambye.” 18 Awo Samwiri n’amutegeeza buli kimu, n’atabaako kigambo na kimu kye yamukisa. Eri n’ayogera nti, “Ye Mukama, akole nga bw’asiima.”
19Mukama n’abeera wamu ne Samwiri, n’akula. Buli kigambo kye yayogera ku nnyumba ya Eri ne kituukirira. 20 Isirayiri yenna okuva mu Ddaani okutuuka e Beeruseba ne bategeera nga Samwiri ateekeddwawo okuba nnabbi wa Mukama. 21Mukama ne yeeyongeranga okweyolekera Samwiri mu Siiro.