1 Dawudi bwe yali anaatera okufa, n’abuulirira mutabani we Sulemaani ng’amukuutira nti, 2 “Nze ŋŋenda bonna ab’omu nsi gye bagenda, kale beera n’amaanyi era n’obuvumu, 3 era tambuliranga mu makubo ga
5 “Ate ojjukiranga Yowaabu mutabani wa Zeruyiya kye yankola, bwe yatta abakulu ababiri ab’eggye lya Isirayiri, Abuneeri mutabani wa Neeri ne Amasa mutabani wa Yeseri n’ayiwa omusaayi gwabwe mu biseera eby’emirembe ng’eyali mu lutalo, era omusaayi gwabwe ne gumansukira olukoba lwe olwali mu kiwato n’engatto ze ezaali mu bigere bye. 6 Kale muyise ng’okutegeera kwo bwe kuli, so tomuganyanga kukka emagombe mirembe mu bukadde bwe.
7 “Naye batabani ba Baluzirayi Omugireyaadi obakoleranga ebyekisa, era babenga ku abo abanaatuulanga ku mmeeza yo, kubanga baali wamu nange bwe nadduka Abusaalomu muganda wo.
8 “Era jjukira Simeeyi mutabani wa Gera Omubenyamini ow’e Bakulimu ali naawe, kubanga yankolimira mu ngeri enzibu ennyo, ku lunaku lwe nagenderako e Makanayimu. Kyokka bwe yaserengeta okunsisinkana ku Yoludaani ne mulayirira
10 Awo Dawudi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. 11 Yafugira Isirayiri yonna emyaka amakumi ana, ng’afugira emyaka musanvu e Kebbulooni, n’emyaka amakumi asatu mu esatu e Yerusaalemi. 12 Awo Sulemaani n’atuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa Dawudi kitaawe, obwakabaka bwe ne bunywezebwa nnyo.
13 Adoniya omwana wa Kaggisi, n’alaga eri Basuseba nnyina Sulemaani. Basuseba n’amubuuza nti, “Ojja mirembe?” N’addamu nti, “Weewaawo mirembe.” 14 N’ayogera nate nti, “Nnina kye njagala okukubuulira.” Basuseba n’amuddamu nti, “Kimbuulire.” 15 Adoniya n’amugamba nti, “Nga bw’omanyi, obwakabaka bwali bwange, era ne Isirayiri yenna baatunuulira nze nga kabaka waabwe. Naye ebintu byakyuka, era n’obwakabaka bugenze eri muganda wange, kubanga bumuweereddwa
17 Adoniya n’ayogera nti, “Nkwegayiridde gamba Sulemaani kabaka ampe Abisaagi Omusunammu okuba mukyala wange, kubanga kabaka anaakuwuliriza.”
18 Basuseba n’addamu nti, “Kale, nnaakwogererayo eri Kabaka.”
19 Awo Basuseba bwe yagenda eri Kabaka Sulemaani, okwogererayo Adoniya, Kabaka n’agolokoka okumusisinkana, n’akutama n’oluvannyuma n’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka. N’atumya entebe ey’obwakabaka endala nnyina atuuleko[a], n’atuula ku mukono gwa kabaka ogwa ddyo.
20 Basuseba n’amugamba nti, “Nkusaba ekigambo kimu ekitono, era tokinnyima.”
22 Kabaka Sulemaani n’addamu nnyina nti, “Lwaki osabira Adoniya, Abisaagi Omusunammu? Musabire n’obwakabaka, ate obanga ye mukulu wange; ky’ekyo, sabira ye, ne Abiyasaali kabona ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya!”
23 Awo Kabaka Sulemaani n’alayira ng’agamba nti, “Katonda ankole bw’atyo n’okusingawo, Adoniya bw’atasasule n’obulamu bwe olw’ekyo ky’asabye! 24 Kale nga
26 Kabaka n’agamba Abiyasaali kabona nti, “Ggwe genda e Anasosi mu byalo byo. Osaanidde okufa, naye siikutte mu biro bino, kubanga wasitulanga essanduuko ya
28 Amawulire bwe gaatuuka eri Yowaabu, eyali akyuse okugoberera Adoniya, newaakubadde nga teyagoberera Abusaalomu, n’addukira mu weema ya
30 Benaya n’agenda mu weema ya
34 Awo Benaya mutabani wa Yekoyaada n’ayambuka n’atta Yowaabu, n’aziikibwa mu ttaka lye[c] mu ddungu. 35 Awo kabaka n’afuula Benaya mutabani wa Yekoyaada omukulu w’eggye mu kifo kya Yowaabu, n’afuula ne Zadooki kabona mu kifo kya Abiyasaali. 36 Kabaka n’atumya Simeeyi n’amugamba nti, “Weezimbire ennyumba mu Yerusaalemi obeere omwo, so tovangamu okugenda awantu wonna. 37 Olunaku lw’olivaayo n’osomoka ekiwonvu Kiduloni, tegeerera ddala nga tolirema kufa, era omusaayi gwo guliba ku mutwe gwo ggwe.”
38 Simeeyi n’addamu Kabaka nti, “Ky’oyogedde kirungi. Omuddu wo ajja kukola nga mukama wange kabaka bw’ayogedde.” Awo Simeeyi n’amala ekiseera kiwanvu mu Yerusaalemi.
39 Naye bwe waayitawo emyaka esatu, babiri ku baddu ba Simeeyi ne baddukira eri Akisi mutabani wa Maaka kabaka w’e Gaasi[d]. Simeeyi n’ategeezebwa nti, “Abaddu bo bali Gaasi.” 40 Simeeyi olwawulira ebyo, ne yeebagala endogoyi ye n’agenda e Gaasi eri Akisi okunoonya abaddu be. Simeeyi n’agenda okuleeta abaddu be okuva e Gaasi.
41 Bwe baabuulira Sulemaani nti Simeeyi yava e Yerusaalemi n’agenda e Gaasi era n’akomawo, 42 kabaka n’amutumya, n’amubuuza nti, “Saakulayiza
44 Awo kabaka n’agamba Simeeyi nti, “Omanyi mu mutima gwo obubi bwonna bwe wakola Dawudi kitange. Kaakano
46 Kabaka n’alagira Benaya mutabani wa Yekoyaada, okutta Simeeyi.
-
a Mu nsi ezo ez’obuvanjuba Nnabagereka yalina emirimu egy’obwakabaka gye yakolanga, era yali wa kitiibwa nnyo mu mpya za kabaka.
b Abiyasaali ye yekka eyawona okuttibwa, enju ya Eri bwe yazikirizibwa (1Sa 22:17-20).
c Abantu baaziikibwanga mu ttaka lyabwe kubanga mu biro ebyo tewaaliwo kifo kya lukale eky’okuziikamu
d Gaasi kiri mu Bufirisuuti