1 Dawudi n’akuŋŋaanya abakungu bonna aba Isirayiri e Yerusaalemi ng’omwo mwe muli abakulu b’ebika, n’abakulu b’ebitongole abaaweerezanga kabaka, n’abaduumizi ab’olukumi, n’abaduumizi ab’ekikumi, n’abakungu abaavunaanyizibwanga eby’obugagga n’amagana ebyali ebya kabaka ne batabani be, n’abakungu ab’omu lubiri, n’abasajja ab’amaanyi era n’abasajja bonna abazira.
2 Awo kabaka Dawudi n’ayimirira n’ayogera nti, “Mumpulirize baganda bange era abantu bange. Nnali nteseeteese mu mutima gwange okuzimbira essanduuko ey’endagaano ya Mukama n’entebe ey’ebigere bya Katonda, ennyumba, era nga nentegeka eyaayo ewedde okukolebwa. 3 Naye Katonda n’aŋŋamba nti, ‘Tolinzimbira linnya lyange nnyumba, kubanga oli mutabaazi wa ntalo era wayiwa omusaayi.’
4 “Naye ate Mukama Katonda wa Isirayiri yannonda mu nnyumba ya kitange yonna okuba kabaka wa Isirayiri emirembe gyonna. Yalonda Yuda okuba omukulembeze, ne mu nnyumba ya Yuda n’alondamu ennyumba ya kitange, ne mu batabani ba kitange n’asiima okunfuula kabaka wa Isirayiri yenna. 5 Mu batabani bange bonna, kubanga Mukama ampadde bangi, Sulemaani mutabani wange gw’alonze okutuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa Mukama mu Isirayiri. 6 Yaŋŋamba nti, ‘Sulemaani mutabani wo y’alizimba ennyumba yange n’empya zange, kubanga mmulonze okuba omwana wange, era nange n’abeeranga kitaawe. 7 Ndinyweza obwakabaka bwe emirembe gyonna, bwatalirekayo okugondera ebiragiro byange n’amateeka gange nga bwe bigobelerwa mu nnaku zino.’
8 “Kaakano nkukuutira mu lujjudde lwonna olwa Isirayiri, ekuŋŋaaniro lya Mukama, ne Katonda waffe ng’awulira, nti weekuume okugondera ebiragiro ebya Mukama Katonda wo, olyoke olye ensi eno ennungi era (n’abazzukulu) n’abaana ab’obusika bwo bagisikirenga emirembe gyonna.