6 Awo n’ayita Sulemaani mutabani we n’amukuutira okuzimbira Mukama Katonda wa Isirayiri ennyumba. 7 Dawudi n’agamba Sulemaani nti, “Mwana wange, kyali mu mutima gwange okuzimba ennyumba ku lwa Mukama Katonda wange. 8 Naye ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti, ‘Oyiye omusaayi mungi, era olwanye entalo nnyingi. Tolizimbira linnya lyange nnyumba, kubanga oyiye omusaayi mungi mu maaso gange. 9 Laba, omwana owoobulenzi alizaalibwa gy’oli, era aliba omusajja ow’emirembe, ne muwa emirembe eri abalabe bonna enjuuyi zonna. Aliyitibwa Sulemaani. Ndiwa Isirayiri emirembe n’obutebenkevu ku mulembe gwe. 10 Oyo ye alizimba ennyumba ku lw’erinnya lyange. Aliba mutabani wange, nange ndiba kitaawe. Era ndinyweza entebe ye ey’obwakabaka bwe mu Isirayiri emirembe gyonna.’
11 “Kaakano, mwana wange, Mukama abeere naawe, era olabe omukisa, ozimbire Mukama Katonda wo ennyumba, nga bwe yayogera. 12Mukama akuwe amagezi ag’okwawula n’okutegeera ng’okulembera Isirayiri, olyoke okuumenga amateeka ga Mukama Katonda wo. 13 Olwo onoolaba omukisa bw’oneekuumanga ebiragiro n’amateeka Mukama ge yawa Musa ku lwa Isirayiri. Beera n’amaanyi era gguma omwoyo, totya so totekemuka.
14 “Mu kutegana okungi ntegekedde yeekaalu ya Mukama ttani eza zaabu enkumi ssatu mu bina mu ataano, ne ttani eza ffeeza emitwalo esatu mu enkumi nnya mu bitaano; n’ebikomo n’ebyuma bingi nnyo ebitapimika muwendo gwabyo, n’embaawo n’amayinja. Ate okyayinza n’okwongerako. 15 Olina abakozi bangi; abatemi b’amayinja, n’abazimbi, n’ababazzi, n’abantu bonna abalina obumanyirivu mu kuweesa 16 zaabu ne ffeeza, n’ebikomo, n’ekyuma. Kaakano tandikirawo okukola era Mukama akuluŋŋamye.”
17 Awo Dawudi n’alagira abakulembeze bonna aba Isirayiri okuyamba mutabani we Sulemaani ng’agamba nti, 18 “Mukama Katonda wammwe tali wamu nammwe? Era tabawadde okuwummula n’emirembe ku njuyi zonna? Agabudde ababeera mu nsi mu mukono gwange, era ensi ekkakkanye eri Mukama n’eri abantu be. 19 Kaakano mumalirire mu mitima gyammwe ne mu mmeeme zammwe okunoonya Mukama Katonda wammwe. Mutandike okuzimba awatukuvu wa Mukama, n’oluvannyuma muleete essanduuko ey’endagaano ya Mukama, n’ebintu ebitukuvu ebya Katonda mu yeekaalu eneezimbibwa ku lw’erinnya lya Mukama.”