3 Dawudi ne yeeyongera okuwasa abakazi abalala mu Yerusaalemi, ne bamuzaalira abaana abalala bangi aboobulenzi n’aboobuwala. 4 Amannya g’abaana abaamuzaalirwa ge gaano: Sammuwa, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani, 5 ne Ibukali, ne Eriswa, ne Erupereti, 6 ne Noga, ne Nefegi, ne Yafiya, 7 ne Erisaama, ne Beeriyadda, ne Erifereti.
8 Awo Abafirisuuti bwe baawulira nti Dawudi yafukibwako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri yenna, ne bambuka okugenda okumunoonya, naye Dawudi n’akiwulirako era n’agenda okubatabaala. 9 Abafirisuuti baali bazze nga bazinze ekiwonvu Lefayimu; 10 Dawudi ne yeebuuza ku
11 Awo Dawudi n’ayambuka ne basajja be e Baaluperazimu, n’atabaala Abafirisuuti n’abawangula. N’ayogera nti, “Katonda awangudde abalabe bange n’omukono gwe, ng’amazzi bwe gawaguza.” Era ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Baaluperazimu. 12 Abafirisuuti baali balese awo balubaale baabwe be beekolera, Dawudi n’alagira okwokya balubaale abo.
13 Abafirisuuti ne badda, ne bazinda ekiwonvu. 14 Awo Dawudi n’addamu ne yeebuuza ku
17 Awo ettutumo lya Dawudi ne libuna ensi zonna,